Ezekiel 48:15-18

15“Ekitundu ekirifikkawo ekiweza obuwanvu mayilo munaana n’obugazi mayilo emu kiriba kifo kya bulijjo eky’ekibuga, okuzimbamu ennyumba. Ekibuga kiriba wakati wakyo, 16 aera ebipimo byakyo biriba ku luuyi olw’Obukiikakkono mayilo emu n’ekitundu ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mayilo emu n’ekitundu, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mayilo emu n’ekitundu. 17Ekifo ekiri ebbali w’ekibuga kiriba n’ebipimo byakyo; ku luuyi olw’Obukiikakkono mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’Obukiikaddyo mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba mita ebikumi bibiri mu nkaaga. 18 bEkitundu ekirifikkawo okuliraana omugabo omutukuvu, kiriba obuwanvu mayilo ssatu ku luuyi olw’ebuvanjuba ne mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba, n’ebibala byamu bye biriba emmere y’abakola mu kibuga.
Copyright information for LugEEEE